Luke 22:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'afuluma n'agenda ku Lusozi lw'Oliva ng'empisa ye bwe yali; abayigirizwa nabo ne bamugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'afuluma, n'alaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, nga bwe yali amanyidde okukola. Abayigirizwa be nabo ne bagenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera.