Luke 22:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Taata, obanga oyagala, ekikompe kino kinzigyeko; naye era si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti, “ Kitange, bw'oyagala, nziggyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Kitange, bw'oyagala, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona, naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.