Luke 22:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera, ekibiina ne kijja n'oli omu ku Kkumi n'Ababiri ayitibwa Yuda, ng'abakulembeddemu, n'asemberera Yezu amunywegere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyayogera, ekibiina ky'abantu ne kijja, nga kikulembeddwa oyo ayitibwa Yuda omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'asemberera Yesu okumunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda; omu ku abo ekkumi n'ababiri, ng'abakulembedde; n’asemberera Yesu okumunywegera.