Luke 22:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lunaku nabanga nammwe mu Kiggwa, temwangololera mikono gyammwe kunkwata; kale kino kye kiseera kyammwe n'obuyinza bw'enzikiza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo, ne mutankwata. Naye kino kye kiseera kyammwe, era kye kiseera ky'obuyinza bw'ekizikiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu yeekaalu, temwangololerangako mikono gyammwe: naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.