Luke 22:56 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzaana omu n'amulaba bwe yali atudde mu kitangaala, n'amwekaliriza, n'agamba nti: “N'ono yabadde naye,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti, “ N'ono yabadde naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuzaana omu bwe yamulaba ng'atudde mu kitangaala eky'omuliro, n'amwekkaanya, n'agamba nti: “N'ono yali ne Yesu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti N'ono yabadde naye.