Luke 22:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate nga wayiseewo akabanga katono, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Petero n'agamba nti: “Musajja wattu, siri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti, “ Naawe oli omu ku bo.” Naye Peetero n'agamba nti, “Omuntu, si nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga wayiseewo akaseera, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, si bwe kiri!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti Naawe oli ku bo. Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, si nze.