Luke 22:59 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiseera ne kiyitawo nga kya ssaawa emu, omulala era n'alumiriza nti: “Kya mazima n'ono abadde naye, anti Mugalilaaya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti, “ Mazima n'ono yabadde wamu naye, kubanga naye Mugaliraaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate nga wayiseewo ekiseera kya ssaawa nga emu, omuntu omulala n'akakasa ng'agamba nti: “Ddala n'ono yali wamu ne Yesu, kubanga naye Mugalilaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti Mazima n'ono yabadde wamu naye; kubanga Mugaliraaya.