Luke 22:66 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwakya, abakadde n'abantu bonna wamu ne bakuŋŋaana, wamu ne bakabona abakulu n'abawandiisi; ne bamutwala mu Lukiiko lwabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, ne bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne batwala Yesu mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo obudde bwe bwakya, abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne baleeta Yesu mu lukiiko lwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti