Luke 22:70 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne bagamba nti: “Awo nno ggwe Mwana wa Katonda?” N'abagamba nti: “Mmwe mugamba nti ye nze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?” Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne bagamba nti, “ Kale ggwe oli Mwana wa Katonda?” Yesu n'abagamba nti, “ Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bagamba nti: “Kwe kugamba, ggwe oli Mwana wa Katonda?” Ye n'abagamba nti: “Nga bwe mugambye, nze wuuyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna ne bagamba nti Kale ggwe oli Mwana wa Katonda? N'abagamba nti Nga bwe mwogedde nze nzuuno.