Luke 22:71 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Tukyetaagira ki obujulizi? Anti ffe ffennyini twewuliridde ekivudde mu kamwa ke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba nti, “ Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Ffe ffennyini tuwulidde ebigambo by'ayogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba nti Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.