Luke 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'abawandiisi baali bayimiridde awo, nga bamulumiriza n'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira, era ne banyweza nnyo bye bamuloopa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne beesimbawo nga bamulumiriza n'obusungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira ne banyweza nnyo okumuloopa.