Luke 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Erode n'amujolonga, n'amuduulira, ko n'abakungu be, n'amwambaza omunagiro amakula, n'amusindika addeyo ewa Pilato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode n'abasserikale be ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Herode n'abaserikale be ne bamunyooma, ne bamukudaalira, ne bamwambaza olugoye olunekaaneka, ne bamuddiza Pilaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kerode ne basserikale ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato.