Luke 23:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mundeetedde omuntu ono nga mugamba nti awabya abantu; mmubuuzizza nga nammwe we muli, naye simusanzeemu musango na gumu ku egyo gye mumulumiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “ Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo byonna bye mumuloopye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Mwaleese omuntu ono gye ndi nga mugamba nti atabulatabula abantu. Laba, mmubuuzizza mu maaso gammwe, ne sizuula musango ku muntu ono mu ebyo bye mumuwawaabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopye;