Luke 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era ne Erode naye kye kimu, kubanga naye amukomezzaawo gye tuli. Tewali kye yali akoze kimusaanyiza kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era, ne Kerode bwatyo, kubanga amuzzizza gyetuli, era, laba, omuntu ono tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne Herode bw'atyo, kubanga amuzzizza gye tuli. Omuntu ono tewali kye yakola kimusaanyiza kusalirwa gwa kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era, newakubadde Kerode, kubanga amuzzizza gye tuli; era, laba, tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussisa: