Luke 23:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batandika okumulumiriza nga bagamba nti: “Oyo twamusanga ng'awabya eggwanga lyaffe, ng'aziyiza abantu okuwa Kayisari omusolo, era ng'agamba mbu ye ye Kristu Kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batandika okumuloopa nga bagamba nti, “Ono twamulaba ng'akyamya abantu b'eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, era nga ye yennyini yeeyita Kristo, kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batandika okumuwawaabira nga bagamba nti: “Ono twamusanga atabulatabula abantu b'eggwanga lyaffe, era ng'abagaana okuwa Kayisaari omusolo, era nga yeeyita Kristo, Kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basooka okumuloopa nga bagamba nti Ono twamulaba ng'akyamya eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'ayogera yennyini okuba Kristo, kabaka.