Luke 23:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba ogwokusatu nti: “Ddala yakola kibi ki? Simulabamu musango na gumu gumussa. Awo nno nzija kumukubamu, mmute.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato n'abagamba omulundi ogwokusatu nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze? Sizudde nsonga ku ye emusaliza gwa kufa. Kale nga mmaze okumubonereza, nnaamuta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.