Luke 23:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abateera omusajja eyali ateekeddwa mu kkomera olw'obujagalalo n'obutemu, gwe baali basaba; ye Yezu n'amuwaayo nga bwe baali baagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ata oyo gwe baamusaba, eyali aggaliddwa mu kkomera olw'akajagalalo n'obutemu. N'awaayo Yesu nga bwe baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.