Luke 23:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bamutwala, ne bakwata omusajja omu, Simoni ow'e Kureni, eyali ava mu nnimiro, ne bamutikka omusaalaba agutwale ng'agoberera Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasserikale bwe baali nga batwala Yesu, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka omusalaba, okugwetikka ng'ava emabega wa Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaserikale bwe baali batwala Yesu, ne bakwata Simooni Omukireene, eyali ava mu kyalo, ne bamussaako omusaalaba okugwetikka ng'avaako Yesu emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo baali nga bamutwala, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka emusalaba, okugwetikka ng'ava ennyuma Yesu.