Luke 23:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ekibiina kinene eky'abantu ne kimugoberera, ko n'abakazi nga baaziirana n'okumukaabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abagenda baamukaabira, era ne bamulirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina ky'abantu kinene ne kigoberera Yesu. Mu kibiina ekyo, abakazi ne bagenda nga bakungubaga era nga bakaaba olwa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abaamukaabira, ne bamulirira.