Luke 23:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'akebuka gye bali, n'agamba nti: “Bawala ba Yeruzaalemu, muleke kunkaabira; naye mwekaabireko mwennyini ne ku lwa baana bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti, “Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'abakyukira n'agamba nti: “Abakazi, ab'e Yerusaalemu, muleke kukaabira nze, naye mwekaabire mwennyini, era mukaabire baana bammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'abakyukira n'agamba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe.