Luke 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Ye n'addamu nti: “Oyogedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'amubuuza ng'agamba nti, “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu n'agamba nti, “ Kyekyo nga bwoyogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'ogambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Piraato n'amubuuza, ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amuddamu n'agamba nti Oyogedde.