Luke 23:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Akawanga, ne bamukomerera ku musaalaba, era n'ababbi, omu ku ddyo n'omulala ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, ne bakomerera awo Yesu ku musaalaba n'abamenyi b'amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ogwa ddyo n'omulala ku gwa kkono.