Luke 23:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyali kiyimiridde nga kitunuulira. Abakulembeze ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; kale naye yeewonye obanga ye Kristu wa Katonda, Omulonde we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bayimirira awo nga bamutunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bayimirira awo nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala, yeewonye yennyini, oba ng'ono ye Kristo Omulonde wa Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bayimirira nga batunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti Yalokolanga balala yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.