Luke 23:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku babbi abo abaali bawanikiddwa n'amuvuma ng'agamba nti: “Si ggwe Kristu? Weewonye naffe otuwonye!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa ku musalaba n'amuvuma ng'agamba nti, “Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe otulokole.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bamenyi b'amateeka abaawanikibwa ku musaalaba, n'avuma Yesu ng'agamba nti: “Si ggwe Kristo? Weewonye, naffe otuwonye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa n'amuvuma ng’agamba nti Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe.