Luke 23:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omulala n'ayogera, ng'akoma ku munne, ng'agamba nti: “Naawe Katonda tomutya, sso ng'oli mu kibonerezo kimu naye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti, “N'okutya totya Katonda, kubanga ggwe oli ku kibonerezo kye kimu naye?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oli omulala n'addamu ng'anenya munne, n'agamba nti: “Ggwe, n'okutya totya Katonda nga tuli ku kibonerezo kye kimu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n’agamba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kye kimu naye?