Luke 23:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'akoowoola n'eddoboozi ddene, n'agamba nti: “Kitange, mu mikono gyo mwe ntadde omwoyo gwange.” Mu kwogera ebyo n'assa omukka omuvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kitange, nkukwasa omwoyo gwange!” Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n’ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.