Luke 23:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Senturiyo bwe yalaba ebibaddewo, n'agulumiza Katonda, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yalaba ebibaddewo, n'atendereza Katonda nga bw'agamba nti: “Ddala ono abadde muntu mulungi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwami w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo, n'atendereza Katonda, ng'agamba nti Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.