Luke 23:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekibiina kyonna eky'abantu abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebyaliwo, ne baddayo nga bakuba ebifuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna enkumu, abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo, ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo nga beekuba mu bifuba.