Luke 23:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abamanyi be bonna n'abakazi abaali bamugoberedde okuva mu Galilaaya baali bayimiridde walako, baalaba ebintu bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mikwano gya Yesu bonna, n'abakazi abajja naye okuva e Galilaaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.