Luke 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo ne bongera okukalambira nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza mu Buyudaaya mwonna okuviira ddala e Galilaaya okutuuka kuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne balumiriza nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza. Yatandikira Galilaaya, n'ayita mu Buyudaaya bwonna okutuuka wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bo ne beeyongera okutayirira nga bagamba nti Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.