Luke 23:51 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali takkirizaganyizza nabo mu nteesa yaabwe ne mu bye baakola. Yali w'e Arimateya, ekibuga ky'omu Buyudaaya; naye yali alindirira obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, era yali alindirira obwakabaka bwa Katonda:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda: