Luke 23:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakazi abaali bavudde naye mu Galilaaya baali bagoberedde, nabo ne balaba entaana n'omubiri gwe nga bwe gwali guteekeddwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera Yusufu, ne balaba entaana, n'omulambo gwe we gwateekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi abajja ne Yesu okuva e Galilaaya, ne bagoberera Yosefu, ne balaba entaana, n'omulambo gwa Yesu nga bwe guteekeddwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera, ne balaba entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekebwa.