Luke 23:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erode bwe yalaba Yezu, n'asanyuka nnyo kubanga yali yeegomba dda okumulaba; kubanga yali amuwulirako, era yali yeesunga okulaba akabonero k'anaakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo: kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Herode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo, kubanga yali awulidde ebimufaako, era okuva edda yayagalanga okumulaba, era ng'asuubira okulaba bw'akola ekyamagero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo; kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero.