Luke 24:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mariya Magudalena ne Yowannina ne Mariya nnyina Yakobo wamu n'abakazi abalala be baabuulira ebyo Abatume.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala abali awamu nabo ne babulira abatume ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo.