Luke 24:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'asituka, n'agenda mbiro ku ntaana. Bwe yakutama n'atunula munda, n'alaba essuuka nga ziri zokka; n'addayo eka nga yeewuunya ekyali kiguddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero n'asituka n'adduka, n'agenda ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'agolokoka n'addukana ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.