Luke 24:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo era bannaabwe babiri baali bagenda mu kyalo ekiyitibwa Emmawusi, nga kiri sitadiyo nga nkaaga okuva e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga (60).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga.