Luke 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Bigambo ki ebyo bye mugenda munyumyako nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?” Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Bigambo ki ebyo bye mwebuuzaganya nga mutambula?” Ne bayimirira nga bawootedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bigambo ki bye mubuuzaganya nga mutambula? Ne bayimirira nga bawootedde.