Luke 24:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bo erinnya lye Kulewopa n'ayanukula n'amugamba nti: “Ggwe wekka ggwe mugenyi mu Yeruzaalemu atamanyi biguddewo mu nnaku zino?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti, “ Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?