Luke 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Biki?” Bo ne bagamba nti: “Ebifa ku Yezu ow'e Nazareti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bikolwa ne mu bigambo mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ababuuza nti, “ Bigambo ki ebyo?” Ne bamugamba nti, “ Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakoleranga ne bye yayogereranga mu maaso ga Katonda ne mu g'abantu bonna: