Luke 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe twali tusuubira nti ye wuuyo ajja okununula Yisirayeli. Ate si kino kyokka, kati luno lwe lwokusatu kasooka ebyo byonna bigwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe twali tusuubira nti ye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo.