Luke 24:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'abagamba nti: “Babuyabuya mmwe, abatakkiriza mangu byonna abalanzi bye baayogera!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ye n'abagamba nti, “ Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima era abalwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ye n'abagamba nti Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga;