Luke 24:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'abannyonnyola buli kigambo ekimukwatako mu Biwandiiko ebitukuvu byonna, ng'asookera ku Musa n'Abalanzi bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye.