Luke 24:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bo ne bamukwatiriza nga bagamba nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buubuno buwungeera n'olunaku luuluno lweyerawo.” N'ayingira, n'asigala nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuwaliriza nga bagamba nti, “Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano.” N'ayingira okutuula nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuwaliriza nga bagamba nti Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano. N'ayingira okutuula nabo.