Luke 24:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagambagana nti: “Emitima gyaffe gyabadde tegitubugujja muli ng'ayogera naffe mu kkubo, ng'atunnyonnyola Ebiwandiiko ebitukuvu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beebuuzaganya nti, “ Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne beebuuzaganya nti Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?