Luke 24:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange, nti nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe; manyanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga nze bwe mundaba nabyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.