Luke 24:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye baali tebanakkiriza olw'essanyu n'okwewuunya; awo ye n'abagamba nti: “Mulinawo wano ekyokulya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti, “ Mulina ekiriibwa wano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti Mulina ekiriibwa wano?