Luke 24:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'abagamba nti: “Ebyo bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyampandiikibwako mu Tteeka lya Musa ne mu Balanzi ne mu Zabbuli tebirirema kutuukirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.