Luke 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batya, ne bakoteka emitwe wansi; bo ne babagamba nti: “Munyoonyeza ki omulamu mu bafu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe baali battidde, nga bakutamye ng'amaaso gaabwe gatunudde wansi, ne babagamba nti, “ Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe baali batidde, nga bakutamye amaaso gaabwe, ne babagamba nti Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?