Luke 24:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira ekkumi n'omu n'abalala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n'omu (11), n'abalala bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n’omu, n'abalala bonna.