Luke 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okubaddamu n'abagamba nti: “Alina ekkanzu ebbiri aweeko atalina; alina emmere naye akole bw'atyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu n'abagamba nti, “ Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere naye akole bw'atyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abaddamu nti: “Alina engoye ebbiri aweeko atalina, era alina emmere naye akole bw'atyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'abagamba nti Alina ekkanzu ebbiri, amuweeko emu atalina, n'alina emmere akole bw'atyo.